Chelsea erindiridde kuteeba 6 nate
Chelsea erindiridde okuteeba goolo 6 omulundi gwaayo ogwokusatu mu luzanya lw’omulundi gguno nga bakyaaza lunyegenya Stoke City olwegulo lwa leero.
Ba nantameggwa ba Bungereza baakuba goolo 6 ku kiiso West Bromwich Albion ne Wigan Athletic, nga ba kuzaako Ababuumbi ku at Stamford Bridge.
Oluuyi lwa Carlo Ancelotti bakateeba goolo 29 nga tewali abanukudde mu mipiira 5 egya liigi era ng’omutendesi ono yekakasa nti ne Stoke naye eyengedde ng’era bagenda ku ginoga.
Didier Drogba, Florent Malouda ne Nicolas Anelka bakateebako 8 kw’ezo e 12 Chelsea zeyakateeba era ng’abasatu bano besuunga okutulisa Stoke eyafuka bakimpe nkyekubire, ate nga banantamegwa bagikuba 7 ku 0 ewaka waabe mu May.
Ng’abawuwutanyi bano bwebeyongera omutindo n’asamba wakati John Obi Mikel yatandise n’amanyi ekyawadde abalwaanyi b’ Ancelotti okugenda mu maaso. Ne Ramires eyakagulibwa obukadde bwa pawundi 18, asubirwa okusamba omupiira gwe ogusooka.
Chelsea erina goolo 12 mu mipiira gya Premier League ebiri egyisoose naye nga sibeboka abateebi abakabi.
Ne Arsenal ya baaga Blackpool emirundi 6 ku Emirates wiki ewedde era ng’esubiira okuddamu ekintu ky’ekimu eri Blackburn Rovers mu gwa leero.
Live Radio
Amawulire
Makerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzawo tani za pamba 10,0
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Read moreSsemaka atugumbudde amabugye 2
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Read moreOkwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Abavubuka batabuse o…
Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala balabudde bakulembeze banaabwe aba National Youth Council ku nteekateeka yabwe ey’okwekalakasizza ku nguudo z’omu Kampala nga 20 omwezi guno, nga bawakanya eky’okuwa abavubuka b’omu disitulikiti ya…
Polisi erabudde ab'e…
Ekitongole kya Polisi ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ekya Land Protection Unit kyolekedde olusozi gambalagala olw’okumanyisa bannayuganda engeri y’okwerinda bannaggagga abamaliridde okubabbako ettaka lyabwe.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


