Atletico Madrid ewangudde European Super Cup
Atletico Madrid yawangudde European Super Cup n’egoolo ezatebeeddwa Jose Antonio Reyes ne Sergio Aguero mu kitundu ekyokubiri mu buwanguzi bwa 2-0 eri banantamegwa ba bulaaya Internazionale mu Monaco.
Atletico be bawangula Europa League mu luzanya olw’omulundi oguwedde .
Inter Milan yafunye penati Raul Garcia bwe yasobezza ku Goran Pandev mu budakiika obubwasembyeeyo,naye akwatira Atletico David De Gea yalemeseza Diego Milito okuteeba.
Okugobwa kuno siyeyabadde entandikwa Rafael Benitez gye yandyagadde mu mupiira gwe ogusose ng’atendeka Inter okuva lw’eyaddira Jose Mourinho mu bigere.
Inter babadde n’emikisa okukyuusa kino naye Milito bw’eyalemeddwa peneti esuubi ne ligwelrawo ddala.
Atletico ya kutindigga egende eri Sporting Gijon mu mupiira ogunagulawo egya La Ligaku Bbalaza oluvanyuma lw’obuwanguzi obwo eri banantamegwa ba Bulaaya.
Live Radio
Amawulire
Makerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzawo tani za pamba 10,0
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Read moreSsemaka atugumbudde amabugye 2
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Read moreOkwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Abavubuka batabuse o…
Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala balabudde bakulembeze banaabwe aba National Youth Council ku nteekateeka yabwe ey’okwekalakasizza ku nguudo z’omu Kampala nga 20 omwezi guno, nga bawakanya eky’okuwa abavubuka b’omu disitulikiti ya…
Polisi erabudde ab'e…
Ekitongole kya Polisi ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ekya Land Protection Unit kyolekedde olusozi gambalagala olw’okumanyisa bannayuganda engeri y’okwerinda bannaggagga abamaliridde okubabbako ettaka lyabwe.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


