Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Abaatemudde omuyizi e Luwero bakwatiddwa

Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.


Ali Kigozi, nga yakulira polisi y’e Luwero agambye nti omuyizi ono abadde ayitibwa Bashir Muyobyo yattibwa ku lwokutaano ku kyalo  Namusansula mu ggombolola y’e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero.

Omulambo gwe gwasangibwa ku Lwomukaaga kumakya nga gubunye ebisago naddala ku mutwe.
Kigozi ategeezezza nti agatemu gano gaakozesa embukuuli z’emiggo okusobola okutta omuyizi oyo.

Wabula ate polisi egaanyi okwatuukiriza bakali butemu bano olw’okutya nti kyanditaataganya eby’okunoonyereza mu butemu buno.