Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Okwokya empiira kusaanyizawo ennanaansi za bukadde

Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.



Ennanaansi ezokeddwa zibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 100.

Omu ku balimi abagudde ku kibabu Mariam Lukwago, agambye nti oluyiira lwakulezeddwa omuntu atabaagaliza, wabula ng’okumanya ebyabaddewo yabadde agenze kutundako yiika nnya. Ategeezezza nti ensonga eno yagitutte dda ku polisi y’e Kikyusa.

Ye Sam Nkwanga, agambye nti yafiriddwa obukadde obusuka mu 5 olw’omuliro ogwayokezza ennimiro ye.

Ssentebe w’eggombolola eno Julius Kaggwa ayongeddeko nti oluyiira lwatwaliddemu n’essamba z’emwanyi, ensuku z’ebitooke wamu n’omuddo gw’ente.

Kaggwa ategeezezza nti empiira zeyongedde kubanga abalimi bangi balimukusambula nga balindirira enkuba y’omwezi gwokusatu.

Abatuuze basabye ab’obuyinza bayise amateeka agakoma ku bantu okwokya empiira kisobozese abalimi okuwona okufirizibwa mu ngeri ey’ekyeyononere.