Bbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddwa
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Kino kyatuseewo oluvannyuma lwa bbasi ya kampuni eno okugwa ku kabenje akaafiriddemu abantu 3 ku luguudo Kampala- Masaka.
Bbasi eyo nnamba UAL 528N eyabadde ejjudemu abasaabaze 53 yabadde yeyuna Bwera mu disitulikiti y’e Kasese ng’oyise Mbarara, yeyalemeredde omugoba waayo neyeevunula emirundi n’emirundi, yogayoga ng’abantu 3 bakkiridde ezirakumwa.
Okunoonyereza okwakoleddwa polisi erawunira ku nguudo kwalaze nti akabenje kano kaavudde kukuvuga ndiima, era polisi yennyini yeyawadde ekitongole kya TLB amagezi ag’okuyimiriza emirimu gya bbasi zino.


