Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu

Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.

 

Omukolo guno gwabadde ku kasolya k’ekika ky’omusu akasangibwa ku kyalo Sama mu muluka gw’e Sama mu ggombolola lya Ssabasajja ery’e Kammengo mu ssaza ly’e Mawokota, ew’omukulu w’ekika ekyo omutaka Muyingo Bulega.

 

Mu nsinsikano eno ebeerawo buli mwaka ku luno Nabagereka yagguddewo n’ensawo y’ekika kino nga mu abazzukulu mwebagenda okuterekanga ensimbi ezinaakolanga emirimu gy’ekika, era nga jjajja wa Nabagereka omutaka Nkalubo Ssebuggwawo Nelson yeeyasoose okusaamu ejjamba.

 

Mu birala ebyatongozeddwa mulimu olusuku lw’ekika, embuga y’owakasolya n’enteekateeka ey’okusa ekika ku mutimbagano gw’ensi yonna oba yintaneti.