Enzikiriza y'Obukulisitaayo y'esinza abakkiriza mu nsi
Abantu abakkiririza mu Yesu Kristo bebali mu nzikiriza esinga obunene ku nsi era ng’ebunye ensi yonna mu kyasa ekyakaggwa, okusinziira ku alipoota eyafulumiziddwa era nga n’abamu ku bakulisitaayo basing’anibwa mu bifo gye batasuubirwa.
Bungereza yeyali enzibuko y’enzikiriza eno okumala emyaka nga kikumi naye leero Amerika erina ekitundu kimu kyakusatu ku bakrisitaayo mu nsi omuli obukadde 247 n’eddiirirwa Brazil ne Mexico.
China naye eri mu nsi ekumi ezisiinga okubaamu abakulisitaayo abasubirwa okukunukkiriza obukadde 67.
Abakulisitaayo mu nsi yonna bawerera ddala obuwumbi 2.2, kino nga kimu kyakusatu ky’abungi bw’abantu mu nsi.
So nga abayisiraamu bakwata kyakubiri n’obuwumbi 1.6 obw’abagoberezi.
Amawanga agasangibwa mu maserengeta g’eddungu Sahara gegasinze okubamu omuggungu gw’obukulisitaayo nga kati bawera obukadde 516 okuva ku 9 obwalimu mu mwaka 1910. Mu mawanga gano Nigeria, Democratic Republic of Congo ne Ethiopia gegasinga okubaamu abangi.
Live Radio
Amawulire
Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.
Read moreBbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddw
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Read moreMakerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzaw…
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Ssemaka atugumbudde …
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Okwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


