Ss'abalabirizi Orombi mwetegefu okuwummula
Ss’abalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Henry Luke Orombi alagidde wabewo okulondebwa kw’anamuddira mu bigere kubanga ye ayolekedde okuwummula.
Okulonda kuno kwakubaawo mu mwezi gwa June 2012 era nga kwakukolebwa olukiiko lw’abalabirizi (House of Bishops), olwo aliba alondeddwa alituzibwa ku ntebe mu Desemba era omwaka guno.
Orombi yalondebwa mu July 2003 era yalayizibwa nga ss’abalabirizi nga 25 January 2004.
Ba ss’abalabirizi bano bawereza ekkanisa ebbanga lya myaka 10 era nga batekeddwa okulekerawo okuwereza ku myaka 65 oba ku nkomerero ly’ebbanga eryo, kyonna ekiba kisoose.
Emyaka gy’ekisanja ky’omulabirizi Orombi kyandiweddeko mu January 2014, naye yawezezza emyaka 65.
Live Radio
Amawulire
Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.
Read moreBbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddw
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Read moreMakerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzaw…
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Ssemaka atugumbudde …
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Okwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


