UPC Omukago egwabulidde
Uganda Peoples Congress (UPC) nga ky’ekimu ku bibiina by’obufuzi ebikola omukago gwa Inter-Party Cooperation (IPC) eguvuddemu olw’ensonga z’egamba nti tezebereka.
UPC esubirwa okulangirira okusalawo kwayo kuno leero oluvanyuma lw’olukungaana lw’ekubye mu Christ the King Conference Hall.
Okusalawo okuva mu mukago kwatukiddwako oluvannyuma lw’olukungaana lw'abakulembeze b’ekibiina olwatudde wiikendi eyakaggwa.
Enjawukana mu mukago wiiki bbiri eziyise ku ngeri y’okulwanyisa mu ekitongole ky’ebyokulonda yeyavuddeko UPC okwabulira.
UPC yo yabadde eyagala ab’omukago baleme kwetaba mu buli kikolebwa akakiiko k’ebyokulonda kyokka nga ab’omukago abalala bbo baagala kugenda mu maaso n’enteekateeka z’ebyokulonda kw’omaaka ogujja nga bwebalwanyisa n’ekitongole ky’ebyokulonda mu kaseera ke kamu.
Omukulembeze wa UPC Olara Otunnu yategezezza ku Lwomukaaga nti ensonga y’omukago, kwe kugyawo akakiiko k’ebyokulonda kubanga tekasobola kuteekateeka kulonda kwamazima na bwenkanya.
Naye ssentebe wa IPC ate nga ye mukulembeze wa FDC, Kizza Besigye, ye yakakasizza nti ebirala byonna basobola okubiteesako naye sikuvva mu lwokaano. Nti bayinza okulwanyisa ekitongole ky’ebyokulonda nga bwebetegekera okulonda. Yayongeddeko nti enkyukakyuka mu kakiiko kano esobola okubawo nga okulonda tekunaba.
Ensonda zategezezza nti obudde buyiise UPC okwekyuusa kubanga IPC emmaliriza leero kakuyegge era nga balonda nkya anabakikirira.
Enkayana zigambibwa okuba nga zavudde ku UPC butakiriziganya ne FDC nga y’esukulumye mu mukago guno, gyevunanna obutaba na bwenkanya era n’okuwamba omukago olw’okutukiriza ebirubirirwa byaayo.
Wabula abatunirizi mu by'obufuzi bagambye nti ekya UPC okwabulira kijja ku kosa nnyo omukago nti era ekwesowolayo yoka kijja kuyuzzamu oludda oluvuganya gavumenti. Prof. Golooba Muteebi bweyategezza.
Live Radio
Amawulire
Makerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzawo tani za pamba 10,0
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Read moreSsemaka atugumbudde amabugye 2
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Read moreOkwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Abavubuka batabuse o…
Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala balabudde bakulembeze banaabwe aba National Youth Council ku nteekateeka yabwe ey’okwekalakasizza ku nguudo z’omu Kampala nga 20 omwezi guno, nga bawakanya eky’okuwa abavubuka b’omu disitulikiti ya…
Polisi erabudde ab'e…
Ekitongole kya Polisi ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ekya Land Protection Unit kyolekedde olusozi gambalagala olw’okumanyisa bannayuganda engeri y’okwerinda bannaggagga abamaliridde okubabbako ettaka lyabwe.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


