Abanene mu Gavumenti bamegeddwa mu Kulonda kwa NRM
Ba minisita ba gavumenti bana bamegeddwa mu kulonda kw’ekibiina kya NRM okw’okusunsulamu abanetaba mu kulonda okw’omwaka ogujja.
Ebyavudde mu kulonda biraga nti Janat Namuyangu, Simon Ejua, Simon D’ujanga ne Dr. Emmanuel Otaala basuliddwa ettale ababavuganyiza.
Namuyangu, ye minisita omubeezi ow’ebyamazzi era nga y’akyikirira abakyala mu palamenti okuva e Pallisa. Yabadde yesimbyewo akyikirire Kibuku constituency, naye yamegeddwa abaddeyo Saleh Kamba mu kulonda okwajudde efujjo n’emivuyo. Kamba yafunye obululu 21,539 ate ye Namuyangu nakunganya yo 5,738.
Mubarak Kalungi nga yavunanyizibwa mu kulonda okwo yategezezza nti Namuyangu yamukubira essimu ku Bbalaza nga agamba nti ayagala kuva mu kibiina yesimbewo kubwanamunigina.
Ate mu ssaza ly’e Vurra mu Arua district, minisita w’entambula Simon Ejua yawanguddwa Dr. Sam Okuonzi.
Y’avunanyizibwa ku by’emirimu Dr. Emmanuel Otaala yamegeddwa eyakabiyingira, Jacob Oboth Oboth.
Mu bituntu ebirala, minisita w’eby’okwerinda Amama Mbabazi (Kinkiizi West), minisita w’abakozi ba gavumenti Seezi Mbaguta (Rukungiri), eyali minisita w’ebyobulamu Maj. Gen. Jim Muhwezi (Rujumbura) n’eyali minisita omubeezi ow’ebyobulamu Capt. Mike Mukula (Soroti Municipality) bakaliide.
Mu Amuru disitulikiti, eyali minisita w’obukiika konno bwa Uganda Betty Bigombe yakubidde waggulu ku kuvuganya kuky’okukikirira abakyala mu disitulikiti eyo. Namirembe Bitamazire naye yayisemu avuganye nga ow’bakyala mu Butambala.
Mu disitukiti y’Oyam akyikirira abakyala Beatrice Lagada, yeddiza ekifo bweyawangudde ate eyesimbye mu Oyam North Savior Ogena n’awangula Francis Onena.
Live Radio
Amawulire
Makerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzawo tani za pamba 10,0
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Read moreSsemaka atugumbudde amabugye 2
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Read moreOkwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Abavubuka batabuse o…
Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala balabudde bakulembeze banaabwe aba National Youth Council ku nteekateeka yabwe ey’okwekalakasizza ku nguudo z’omu Kampala nga 20 omwezi guno, nga bawakanya eky’okuwa abavubuka b’omu disitulikiti ya…
Polisi erabudde ab'e…
Ekitongole kya Polisi ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ekya Land Protection Unit kyolekedde olusozi gambalagala olw’okumanyisa bannayuganda engeri y’okwerinda bannaggagga abamaliridde okubabbako ettaka lyabwe.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


