Bannamateeka babanja lipoota ku Masiro
Bannamateeka abalumirirwa ensonga za Buganda bawadde gavumenti ennaku 7 eyasanguze lipoota y’akakiiko akaabuuliriza ku kwokya Amasiro, bw’eremwa bagitwala mu kkooti.
Bannamateeka bano abeegattira mu kibiina kya Young Catholic Lawyers for Political Correctness ekikulirwa munnamateeka Jude Mbabaali be bategeezezza bino ku Christ the King mu Kampala ku Mmande.
Mbabaali ng’ali ne Richard Lumu baategeezezza nti lipoota y’akakiiko yalina okuwa ebyava ku kunoonyereza bannayuganda babimanye naye ku kiseera kino gavumenti yagituulako n’etategeeza bantu kiki ekyazuulibwa so nga bwe boogerako n’abamu ku baali ku kakiiko babasunirako nti akakiiko kazuula abaayokya n’abaakuba abantu amasasi.
Ku ntandikwa y’omwaka gwa 2011 akakiiko akaakulirwa Omulamuzi wa kkooti enkulu George Engwau kaafundikira okubuulirira ku by'Amasiro era eyali omuwandiisi waako Florence Sewannyana n’atutegeeza nti lipoota baagimaliriza ne bagiwa gavumenti mu budde.
“Tuwadde gavumenti ennaku 7 ebuulire bannayuganda ebiri mu lipoota akakiiko bye kazuula bw’eremwa tugitwala mu kkooti kubanga lipoota teyali ya kyama” Mbabaali bwe yakkaatirizza.
Katikkiro wa Buganda Ying. John Baptist Walusimbi bwe yabadde ayogera mu Lukiiko lwa Buganda mu December omwaka oguwedde yategeezezza nti emirimu agikoze n’agimaliriza naye agenze si mumativu kubanga tategedde byava mu lipooti y’akakiiko akabuuliriza ku kyavaako okwokya Amasiro.
Amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e Kasubi gakwata omuliro nga 16/March/2010 ennyumba Muzibwazaalampanga omugalamidde enjole za Bassekabaka bana n’esaanawo.
Live Radio
Amawulire
Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.
Read moreBbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddw
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Read moreMakerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzaw…
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Ssemaka atugumbudde …
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Okwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


