Obuganda bufunye omulangira
Obuganda bucamuse era ne bucacanca n’okusagambiza oluvannyuma lw’amawulire ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okufuna omulangira wa Mujaguzo .
Twafunye amawulire g’omulangira ono ne tunoonyereza era ne tuzuula nti matuufu kuno ne tugattako n’ekifanyi kya Kabaka ng’amusitudde olwo ne tusalawo okutuukirira Katikkiro alina obuvunaanyizibwa bw’okulangirira amawulire agalinga gano.
Katikkiro Ying. John Baptists Walusimbi, eyawulikise ng’asanyusiddwa nnyo amawulire gano , yategeezezza ku ssimu nti “Ani oyo asobola okwetuminkiriza n’alangirira okuzaalibwa kw’omulangira w’eng’oma ? Ogwo mulimu gwa Katikkiro. Ate nze sinnamanyisibwa nti waliwo omulangira w’eng’oma eyazaaliddwa.” Wabula yagasseeko nti teyeewuunya bantu kwetulinkiriza na kucamuka okw’engeri eyo nti kubanga baludde nga balangirira omulangira alinze.
Kabaka bwe yawasa Nnaabagereka mu mbaga y’ekyasa eyaliwo mu 1999 eyamenyawo eya Majanja, Abaganda baafuna essuubi lingi naddala bwe yazaala omumbejja Katrina Sangalyambogo nga July 2001. Olwo baalindirira omulangira ne batuuka n’okwesiba ku mwana agambibwa nti yali wa mugenzi Dr.Sulaiman Kiggundu, Kabaka gwe yasitula ku mukolo ogwali mu Ekirisiya y’Abasoddokisi e Namung’ona.
Live Radio
Amawulire
Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.
Read moreBbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddw
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Read moreMakerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzaw…
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Ssemaka atugumbudde …
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Okwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


