Museveni awadde Kagame emidaali 3
Pulezidenti Yoweri Museveni awadde Pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda emidaali gy’obuzira esatu, n’ategeeza nti Uganda ne Rwanda ziringa ensi emu era bw’abeera e Rwanda abeera ng’ali mu Uganda.
Mw. Museveni yategeezezza nti awulira ekintu kye kimu bw’abeera mu mawanga ag’omuliraano amalala nga Kenya, Tanzania, Burundi, DR Congo ne South Sudan.
“Njagala Abanywanda bonna bwe baba mu Uganda beegazaanye ng’abali ewaabwe era ne Bannakenya, Abatanzania, Abarundi, Abacongo n’aba South Sudan bwe batyo,” Museveni bwe yaggumizza.
Bino byabadde ku Sebei College mu disitulikiti y’e Kapchorwa ku mikolo gy’okujjukira ameenunula aga 26 January.
Pulezidenti Kagame yaweereddwa omudaali ogwa “Uganda Ekkula lya Afirika,” oguweebwa abakulembeze b’amawanga ne gavumenti. Yayongeddwaako ogwa Kagera oguweebwa abeetaba mu lutalo olwasiguukulula Idi Amin mu 1979, n’ogwa Luweero oguweebwa abeetaba mu lutalo lw’omu nsiko olwalwanyisa effugabbi lya Obote ll.
Pulezidenti Kagame yasiimye nnyo emidaali egyamuweereddwa ne yeebaza Bannayuganda okubeera obumu n’Abanyarwanda mu bubi ne mu bulungi era n’alabula nti bo bennyini be balina okweggya mu bwavu mu kifo ky’okulowooleza mu banunuzi ne mu buyambi okuva eri abaabanunula.
Live Radio
Amawulire
Nabagereka atongozza ekibiina ky'abomusu
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda olunaku lw’eggulo yatongozza ekibiina omugenda okwegattiranga Abaana n’Abazukkulu bonna ab’ekika ky’omusu.
Read moreBbasi za kampuni ya Kalita ziyimiriziddw
Ekitongole kya Transport Licensing Board (TLB) kiyimirizza emirimu gya kampuni ya bbasi eyitibwa Kalita Bus Company.
Read moreMakerere erinyisizza omutindo gw'okusoma
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Read moreOmuliro gusaanyizzaw…
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Ssemaka atugumbudde …
Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.
Okwokya empiira kusa…
Omuliro gw’oluyiira gusaanyizzawo yiika z’ennanaansi ezisoba mu 30 mu ggombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luwero.
Abaatemudde omuyizi …
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Okulunda enjuki muku…
Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.
Tetujja kusomesa - A…
Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.
Owa polisi asindikid…
Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.
Kajubi azziddwayo mu…
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
300 bagobeddwa ku tt…
Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.
Who's Online
| Total Visits: | 62293 |


