Abavubuka batabuse olwa ssente eziwebwa buli disitulikiti
Abakulembeze b’abavubuka mu Kampala balabudde bakulembeze banaabwe aba National Youth Council ku nteekateeka yabwe ey’okwekalakasizza ku nguudo z’omu Kampala nga 20 omwezi guno, nga bawakanya eky’okuwa abavubuka b’omu disitulikiti ya Kampala obuwumbi bw’ensimbi 16 n’ekitundu.
Ssentebe w’akakiiko k’abavubuka mu Kampala Anthony Buwande bw’abadde ayogerako eri bannamawulire wali ku City Hall agambye nti, aba National Youth Council nga bakulembeddwamu ajjikulira Samuel Kavuma tebalina busobozi kutetenkanya ssente zino nga bwebagamba kubanga baali bawereddwako obukadde 14 okuteekateeka emikolo gy’olunaku lw’abavubuka mu Arua, wabula nebazikozesa bubi.
Abakulembeze ba National Youth Council nga be gattiddwako omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba b’eggwanga Gerald Karuhanga bawakanya eky’okuwa abavubuka ba Kampala obuwumbi 16.5 okusobola okwekulakulanya, kyokka nga disitulikiti endala zonna zawereddwa obuwumbi 25 bwokka.


