Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Okulunda enjuki mukusomese mu masomero- Abalunzi

Abalunzi b’enjuki mu disitulikiti y’e Kabale baagala minisitule y’ebyenjigiriza egatte amasomo g’okulunda enjuki (Apiculture )mw’ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero ga pulayimale.

 

Bagamba nti okugatta amasomo gano mu biyigirizibwa abayizi kijja kusobozesa abaana okumanya omugaso gw’enjuki ate kibawe n’enkizo kukwetandikirawo emirimu ebirala bwebiba bigaanye.

 

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abaluunzi b’enjuki Jackson Jurua McPeace, agambye nti okusoma eby’okulunda enjuki kulina kubera mu ngeri ekwatikako so ssi mu kuwandiika buwandiisi.

Agaseeko nti ssinga kino kikolebwa, bamusaayi muto bajja kumanya omugaso gw’ebisusunku ebiva mu kukenenula omubisi nebikolebwamu ssabuuni, emisubbawa wamu n’ebintu ebirala.