Kajubi azziddwayo mu nkomyo
Omusuubuzi eyegulira erinnya mu kusaddaka omwana, Godfrey Kato Kajubi, azziddwa mu kkomera lya Masaka Central Prison ku nsonga z’okusaddaka Joseph Kasirye eyali ow’emyaka 12 mu mwaka gwa 2008.
Kajubi alabiseeko nate mu maaso g’omulamuzi w’eddala eryokubiri, Fortunate Komukama, n’amusomera emisango emigya egyimuvunaanwa.
Oludda oluwabi nga lukulembeddwa Rachel Namazzi lutegeezezza kkooti nti Kajubi yasaddaka omulenzi Joseph Kasirye omw’emyaka 12 ku kyalo Kayugi mu ggombolola ye Mukungwe mu mikolo egy’okusamira.
Kajubi yazza omusango guno mu October 2008 bweyagulirira abasamize, Umar Kateregga ne mukaziwe Mariam Nabukeera, okumuttira Kasirye amukozese mu kusamira. Kigambibwa nti Kajubi yasalako Kasirye omutwe n’ebitundu eby’ekyama n’adduka nabyo abisimbire mu musingi gw’ennyumba ze zeyali atunda mu Kampala, Jinja, ne Masaka.
Namazzi yasabye kkooti eddembe esibe Kajubi kubanga polisi ekyanoonyereza ku musango gwe.
Komukama teyaganyizza Kajubi kubako kyayogera n’alagira azzibwe mu kkomera okutuusa nga February 1st 2012 lwalisalawo oba atwalibwe mu kkooti enkulu omusango gwe guddemu okuwulirwa.
Kajubi yalabise ng’akambuwadde n’asiba emitaafu ne yesimuula n’akatuuyo, okulaga nti awakanya okusalawo kw’omulamuzi.


