Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Tetujja kusomesa - Abasomesa

Ng’amasomero gateekateeka okuggulawo olw’olusoma olusooka omwaka guno, abasomesa basazeewo kugumba ku ssomero lya Bat Valley Primary School okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga zabwe.

 

Ebimu kubiruma abasomesa kwekubongeza ku musaala n’okubafunira ew’okusula nga bali ku mulimu.

Omubaka wa Kalungu west Joseph Sewungu, ategeezezza olukung’ana lw’abannamawulire nti  abasomesa tebajja kulabikako mu bibiina ku lusooka wabula okutuula ku Bat Valley okutuusa ng’ebizibu byabwe bigonjoddwa.

 

Agambye nti okwekalakaasa kuno bwekukolebwa mu lusoma olusooka kujja kuwonya okutaataganya ebibuuzo by’olusoma olusembayo ebiyisa abaana. Sewungu ategeezezza nti ekikulu mu byonna abasomesa baagala kusisinkana pulezidenti olwo bakakase nti ebizibu byabwe bifunye eky’okuddamu eky’enkomeredde.