Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Ssemaka atugumbudde amabugye 2

Polisi mu Arua eriko musajjamukulu ow’emyaka 25 gw’ekutte olw’okutirimbula amabujjege ababiri bweyagasibyemu emiguwa n’agawanika.

 

Jamal Abdallah, omutuuze mu kibuga ky’Arua ye yasse Kassim Econi 5, ne munne Majid Bayo 3.


Ekikolwa kino kitabudde balilanwabe mu Tanganyika Ward mu munisipaali y’Arua era omu ku bo, Saphina Bako, agambye nti bino nga tebinnabawo abaana bano babadde babeera ne jjajja wabwe ku kyalo Jiako  mu ggombolola y’e Dadamu.

Kyokka Abdallah abanonyeyo ng’agamba ayagala kubeera nabo kyokka mu ttumbi yabakutte n’abettira.

 

Omusajja ono yayawukana ne nnyina w’abaana bano omwaka gumu oguyise. Wabula kitaawe era jjajja w’abaana,  Abdallah Asiki olw’obusuungu obungi ate nga yaliko omujaasi ategeezezza nti mutabaniwe asanira kufa. Yegayiridde abapolisi bamuwe emmundu amwettire kubanga omutemu naye asana kuttibwa.

Obia agaseeko nti kalibutemu amazze neyeggalira mu kaddukulu ka polisi neyewayo akole sitatimenti.