Omuliro gusaanyizzawo tani za pamba 10,000
Omuliro ogwatandise mu ttuntu lyagyo ku Ssande gwasaanyizzawo tani za pamba ezisoba mu 10,000 e Gulu.
Abeerabiddeko n’agabwe baategeezezza nti omuliro gwavudde mu mudumu gwa lore eyabadde esimbiddwa okumpi n’ewatikkulirwa pamba ono. Kigambibwa nti dereva wayo yagireesemu omuliro ogwagiretedde okukwata.
Olw’ebbula ly’ebimotoka ebizikiza omuliro, abatuuze balwanye buteddiza okuzikiza omuliro guno. Abalala baawaddeyo n’emmotoka zabwe okusomba omusenyi era ogwakozeseddwa okuzikiza omuliro.
Omuduumizi wa polisi e Kitgum, Nasur Oringa ye anenyezza abakulembeze b’ekyuma kino ekisusunsula pamba olw’obulagajjavu, kubanga yali yabalabula dda okufaayo eri ebiyinza okuviirako omuliro naye nebesulirayo gwannagamba.
Wezaaweredde essawa 3 ez’ekiro ng’ekimotoka ky’amazzi okuva e Gulu tekinatuuka nga wayise essawa 8 okuva omuliro lwegwatandise.


