Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Polisi erabudde ab'ebibanja ku bagagga abaagala okubanyaga

Ekitongole kya Polisi ekivunaanyizibwa ku by’ettaka ekya Land Protection Unit kyolekedde olusozi gambalagala olw’okumanyisa bannayuganda engeri y’okwerinda bannaggagga abamaliridde okubabbako ettaka lyabwe.


Omwogezi w’ekitongole kino, Emilian Kayima agambye nti polisi ekizudde nga bwewaliwo bannanyini ttaka abasiba sseng’enge ku bibanja by’abo bebaaguza, kyokka bannanyini bibanja bwebavaayo okwekubira enduulu, nga batiisibwatiisibwa okusibwa olw’okwonoona ebintu by’abantu abalala.


Olw’obulumi obungi ab’ebibanja batera okwekung’aanya balwanyise bannanyini ttaka wabula nebakomekkerera nga bebasibiddwa, olwo bannyini ttaka nebakozesa akaseera ako okweddiza ebibanja byabwe.

 

Kayima agambye nti bangi ku bannyini bibanja baavu  nga babijjamu dda enta  era bangi ne bongera okubbibwa kubanga balaba tewali muntu n’omu mu gavumenti ayinza kubataasa.