Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

Owa polisi asindikiddwa mu kkomera lwa kukwata ataneetuka

Omupolisi akolera e Koboko yasindikiddwa mu kkomera ly’e Gbukutu olw’okukwata omwana atanetuuka n’okujja ensimbi ku bantu ng’akozesa obukujjukujju.

 

Vicky Okuonzi, 54, nga yakulira polisi y’e Koboko police station, yeyakwatiddwa olw’okusobya ku mwana ow’emyaka 15.

Omwogezi wa polisi mu West Nile Josephine Angucia, agambye nti abapolisi abalawuna baasisinkanye omuwala ono ng’asobeddwa nga bwanoonya bakaddebe olwo ne basalawo okumukuumira ku polisi.

 

Kigambibwa nti Okuonzi yatwala omuwala ono okuva mu bakadde be ng’abategeezezza nti agenda kumusasula amukolere nga hawusi galo ku mitwalo 3 (30,000).


Polisi era yagambye nti, Okuonzi alina ssente ezitamanyiddwa muwendo zeyasaba abaagala okwegatta ku kuyamba polisi mu kutangira obuzzi bw’emisango oba sikyo teyandibawandisizza.


Okuonzi kyeyavudde akwatibwa n’asimbibwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala ery’okubiri e Koboko ayanukule emisango gyombiriri era oluvannyuma n’asindikibwa mu kkomera ry’e Gbukutu okutuuka nga February 8, 2012.