Abaatemudde omuyizi e Luwero bakwatiddwa
Polisi e Luwero ekutte abantu bana abeetabye mu lukwe lw’okutta omuyizi wa Ndejje High School.
Ali Kigozi, nga yakulira polisi y’e Luwero agambye nti omuyizi ono abadde ayitibwa Bashir Muyobyo yattibwa ku lwokutaano ku kyalo Namusansula mu ggombolola y’e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero.
Omulambo gwe gwasangibwa ku Lwomukaaga kumakya nga gubunye ebisago naddala ku mutwe.
Kigozi ategeezezza nti agatemu gano gaakozesa embukuuli z’emiggo okusobola okutta omuyizi oyo.
Wabula ate polisi egaanyi okwatuukiriza bakali butemu bano olw’okutya nti kyanditaataganya eby’okunoonyereza mu butemu buno.


