Banner

Live Radio


Total Visits:62293

Amawulire

Bannayuganda bakwefunira emirimu 6,237

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kusikiriza ba musiga nsimbi mu ggwanga, ekya Uganda Investment Authority kitegeezezza nga bannayuganda abawerera ddala 6,237 bwebagenda okwefunira emirimu mu makampuni eg’enjawulo 62 agawereddwa layisinsi okutandikawo bizinensi...

Read more

Obubbi bw'emmotoka bweyongedde mu Kampal

Polisi erabudde banannyini mmotoka mu Kampala n’emiriraano nti okuva mu mwezi gw’okusatu emisango gy’okubba mmotoka gyeyongedde ng’era ebika ekya Ipsum ne Noah byebisinga okubbibwa.

Read more

Eyabba ezamicrofinance akwatiddwa

Polisi kyaddaki ekutte omusajja omu kw’abo abasatu b’emaze ebbanga nga ennonya nga kigambibwa nti baabula n’essente z’abantu oluvannyuma lw’okubalimbalimba nti bw’obateresa ssentezo bakwongeramu amagoba ga bitundu 40%, kyokka tebaasobola kukituukiriza.

Read more

300 bagobeddwa ku ttaka e Nakapiripirit

Ab’obuyinza mu ggombolola y’e Namalu mu disitulikiti y’e Nakapiripirit bakonkomadde n’abantu abawerera ddala 300 abaagobeddwa mu maka gaabwe ba ssenkulu b’amakomera.


Baagobwa ku ttaka erigambibwa nti kitundu ku ttaka ly’ennimiro z’amakomera  ezisangiba mu muluka gw’e Kaiku.

Ssentebe w’eggombolola y’e Namalu Peter Lemukol,agambye nti abantu bano abaakoseddwa bagumbye bute mu byalo by’e Lokudud ne Lomorimor gyebali mu mbeera eyungula ezziga ng’abobuyinza mu kitundu ekyo tebalina nanteekateeka yakubafunira wakubeera nga n’oluwuzi balusibidde ku kitongole kya German Non Governmental Organization-GIZ.

Abamu ku babundabunda bano, bagyibwa ku nguudo za Kampala ne batwalibwa e Kawac, kyokka nga kati baagobeddwawo omusuubuzi ayitibwa Cornelius Kodet.

Lemukol annyonnyodde nti Kodet yabalagidde bamuke mangu ekibanja kye mwebabadde baasimba bu weema. Asaba gavumenti eddukirire abantu bano ng’ebagatta ku lukalala lw’abo abagenda okuyambibwa n’ebyokulimisa.