Makerere erinyisizza omutindo gw'okusoma ebitabo
Ettendekero ekkulu mu ggwanga erya Makerere University lirinyisizza omutindo gwalyo ogw’okusoma ebitabo okuva mu tterekero lyabo bweritandisewo enkola eyokubisomera ku yintaneti.
Bino byogeddwa omukulu w’etterekero lino Liz. State mu lukung’aana lwabannamawulire olutudde ku ttendekero mwagambidde nti abayizi b’ettendekero lino kati bajja kusobola okufuna ebitabo byonna nga bwebiri mu tterekero nga bayita ku yintaneti ku bwerere.
Liz agaseeko nti kino kisuubirwa okusobozesa abayizi okusoma mu budde bwabwe era n’okukubaganya ebirowozo kigaziye n’enteekateeka ey’okunoonyereza okugenda mu maaso.


